Leviticus 23:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate ku olwo lwennyini lwe muwuuba omuganda gw'eŋŋano, mutambirirangako Omukama akaliga akalume ak'omwaka ogumu okutali kamogo ng'ekitambiro ekyokye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olwo lwe munaawuubirawuubirangako ekinywa, munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama Katonda eky’omwana gw’endiga omulume, ogwakamala omwaka gumu ogw’obukulu era nga teguliiko kamogo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ku lunaku kwe munaawuubirawuubiranga ekinywa, munaawangayo omwana gw'endiga omulume ogutaliiko bulema, ogutannaweza mwaka okuba ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ku lunaku lwe munaaweerangayo ekinywa ky'eŋŋaano, munaawangayo eri Mukama ekitambiro ekyokebwa, eky'omwana gw'endiga omulume, ogutaliiko kamogo, ogw'omwaka ogumu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ku lunaku kwe munaawuubirawuubiranga ekinywa, munaawangayo omwana gw'endiga omulume ogutaliiko bulema ogutannamala mwaka gumu okuba ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama.