Leviticus 23:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omugaati n'empeke ensiike n'obuwunga obwakaseebwa eby'eŋŋano gye mukungudde, temubiryanga okutuusa ku lunaku olwo lwennyini lwe muweereza Katonda wammwe ebitone bino. Lino tteeka lya lubeerera mu mazadde gammwe gonna yonna gye mulibeera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era temuulyenga ku mugaati n’akatono oba ku mmere ey’empeke ensiike oba eyaakakungulwa, okutuusa ku lunaku olwo lwennyini lwe munaaleeterangako ekiweebwayo kino eri Katonda wammwe. Lino linaabanga tteeka ery’enkalakkalira ery’emirembe gyonna egigenda okujja, mu bifo byonna gye munaabeeranga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Temulyanga ku mugaati, wadde ku ŋaano ensiike, oba ey'ebirimba ebibisi, okutuusa nga mumaze okuleeta ekiweebwayo eri Mukama Katonda wammwe; eryo ly'etteeka eritaliggwaawo mu mirembe gyammwe gyonna, mu nnyumba zammwe zonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temuulyenga ku ŋŋaano mpya, oba nga ya birimba bibisi, oba nga nsiike, oba ng'ekoleddwamu omugaati, okutuusa nga mumaze okuleeta ekitone kya Katonda wammwe. Etteeka lino linaakuumibwanga mu b'ezzadde lyammwe bonna, ennaku zonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So temulyanga mugaati newakubadde eŋŋaano ensiike newakubadde ebirimba ebibisi, okutuusa olunaku olwo, okutuusa lwe munaamalanga okuleeta ekitone kya Katonda wammwe: lye tteeka eritaliggwaawo mu mirembe gyammwe gyonna mu nnyumba zammwe zonna.