Leviticus 23:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Okuva ku lunaku oluddirira Sabbaato lwe muweereza omuganda ogw'okuwuuba, mubalanga wiiki musanvu enzijuvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Okuva ku lunaku oluddirira Ssabbiiti, nga lwe lunaku kwe mwaleetera ekiweebwayo eky’ekinywa ekiwuubibwawuubibwa mubalanga ewiiki enzijuvu musanvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Munaabalanga wiiki musanvu enzijuvu okuva ku lunaku oluddirira Ssabbiiti gye muleteddeko ekinywa kyammwe eky'eŋŋaano okukiwaayo eri Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Munaabalanga wiiki musanvu enzijuvu okuva ku lunaku oluddirira Sabbaato gye muleeteddeko ekinywa kyammwe eky'eŋŋaano okukiwaayo eri Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era muneebaliranga okuva ku lw'enkya oluddirira ssabbiiti, okuva ku lunaku kwe mwaleetera ekinywa eky'ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa; wanaabangawo ssabbiiti musanvu ennamba: