Leviticus 23:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mubalanga ennaku amakumi ataano okutuusa ku lunaku oluddirira Sabbaato eyoomusanvu ne muweereza Omukama ekitone ky'obuwunga bw'eŋŋano eyaakakungulwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Munaabalanga ennaku amakumi ataano okutuuka ku Ssabbiiti ey’omusanvu, ne mulyoka muwaayo eri Mukama ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke empya eyaakakungulwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olunaku olw'ataano oluddirira Ssabbiiti ey'omusanvu munaawangayo ekiweebwayo eky'obutta obuggya eri Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olwokutaano oluddirira Sabbaato ey'omusanvu, munaawangayo eri Mukama ekinywa ekirala eky'eŋŋaano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
okutuusa olw'enkya oluddirira ssabbiiti ey'omusanvu munaabalanga ennaku ataano: awo munaawangayo ekiweebwayo eky'obutta obuggya eri Mukama.