Leviticus 23:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku migaati muweererezangako obuliga obulume musanvu obw'omwaka ogumu, obutaliiko kamogo, ente ennume ento emu n'endiga ennume bbiri. Biriweerezebwa Omukama ng'ekitambiro ekyokye, okwo ssaako ekitone eky'obuwunga n'ekitone eky'okuyiwa; ebitone ebiwonge n'omuliro, akawoowo akasanyusa Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era awamu n’emigaati egyo munaaleeterangako abaana b’endiga musanvu ab’omwaka gumu abataliiko kamogo; munaaleetanga n’ente eya seddume ento emu, n’endiga ennume ento bbiri. Binaabeeranga ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama, awamu n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke n’ekiweebwayo eky’ebyokunywa; nga kye kiweebwayo ekyokebwa n’omuliro, ne muvaamu evvumbe erisanyusa Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awamu n'emigaati egyo, munaaleetanga abaana b'endiga musanvu abataliiko bulema, abatannaweza mwaka; ente ennume ento emu, n'endiga ennume bbiri, okuba ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama. Awamu n'ebyo munaaleeterangako ekiweebwayo kyakwo eky'obutta n'eby'okunywa byakwo. Ekyo kye kiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eky'evvumbe eddungi eri Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awamu n'emigaati egyo, munaawangayo endiga musanvu ez'omwaka ogumu ogumu, n'ente ennume ento emu, n'endiga ennume enkulu bbiri. Zonna teziibengako kamogo. Zinaaweebwangayo eri Mukama, ng'ekiweebwayo ekyokebwa, wamu n'ekitone eky'ebyokulya n'eky'ebyokunywa. Akawoowo ak'ekitone ekyo kasanyusa Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era munaaleetanga wamu n'emigaati abaana b'endiga musanvu abataliiko bulema abatannamala mwaka gumu, n'ente ento emu, n'endiga ennume bbiri: zinaabanga ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama, wamu n'ekiweebwayo kyako eky'obutta, n'ebiweebwayo byako eby'okunywa, kye kiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama.