Leviticus 23:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muweererezangako n'embuzi ennume emu olw'ekitambiro olw'ekibi, n'obuliga bubiri obw'omwaka ogumu olw'ekitambiro eky'okussa ekimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era munaawangayo embuzi emu ennume nga kye kiweebwayo olw’ekibi, era n’endiga ento ennume ez’omwaka ogumu bbiri nga kye kiweebwayo olw’emirembe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era munaawangayo embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ento ennume bbiri ezitannaweza mwaka, okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era munaawangayo embuzi ennume emu, ey'ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ento bbiri, ez'omwaka ogumu ogumu, ng'ekiweebwayo eky'okutabagana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era munaawangayo embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'abaana b'endiga abalume babiri abatannamala mwaka gumu okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe.