Leviticus 23:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Yogera eri Abayisirayeli obagambe nti: ‘Zino ze mbaga z'Omukama eziragiddwa lwe munaayitanga enkuŋŋaana entukuvu. Ze zino embaga zange eziragiddwa:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Yogera n’abaana ba Isirayiri obagambe nti, Zino ze mbaga zange ze nnonze, nga ze mbaga za Mukama Katonda ezirondeddwa ze munaakubirangako enkuŋŋaana entukuvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Embaga ennonde eza Mukama okunaabeeranga okukuŋŋaana okutukuvu ze zino.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ategeeze Abayisirayeli nti: “Ennaku zino ze nnaku za Mukama enkulu, ze munaalangiriranga okukuŋŋaanirangako okusinza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti Embaga endagire eza Mukama, ze munaalangiranga okuba okukuŋŋaana okutukuvu, zino ze mbaga zange endagire.