Leviticus 23:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabona anaawuubanga mu maaso g'Omukama obuliga obubiri ng'ekitone eky'okuwuuba, awamu n'emigaati egy'ebibala ebisooka. Bino biwonge bya Mukama bitukuvu bya kabona.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabona anaawubawuubanga ebiweebwayo ebyo awamu n’emigaati egikoleddwa mu bibala ebibereberye n’endiga zombi ento, nga kye kiweebwayo eri Mukama Katonda ekiwuubibwawuubibwa. Kinaabanga kiweebwayo eri Mukama Katonda ekitukuvu, era kabona y’anaakitwalanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale kabona anaaziwuubanga wamu n'emigaati egy'ebibereberye okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa mu maaso ga Mukama, wamu n'abaana b'endiga bombi; binaabanga bitukuvu eri Mukama era binaabanga bya kabona.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabona anaawangayo eri Mukama emigaati wamu n'endiga, ng'ekitone ekiwuubibwa, ekitwalibwa bakabona. Ebiweebwayo ebyo bitukuvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale kabona anaaziwuubanga wamu n'emigaati egy'ebibereberye okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa mu maaso ga Mukama, wamu n'abaana b'endiga bombi: binaabanga bitukuvu eri Mukama bya kabona.