Leviticus 23:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Ku lunaku olwo lwennyini muyitanga olukuŋŋaana olutukuvu; temukolerangako mulimu gwonna muzito. Lino tteeka lya lubeerera mu mazadde gammwe gonna yonna gye mulibeera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olwo onoolangiriranga olukuŋŋaana olutukuvu; era temujjanga kukolerako mirimu gyammwe egya bulijjo. Eryo linaabeeranga etteeka ery’emirembe gyonna mu mmwe buli yonna gye munaabeeranga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ku lunaku olwo munaalangiriranga okukuŋŋaana okutukuvu; temulukolerangako mulimu gwonna. Eryo ly'etteeka eritaliggwaawo mu nnyumba zammwe zonna, mu mirembe gyammwe gyonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olwo munaalangiriranga, ne mukuŋŋaana okusinza. Temuulukolerengako mirimu gya mikono. Etteeka lino munaalikuumanga ennaku zonna, yonna gye munaabeeranga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era munaalangiranga ku lunaku olwo; wanaabangawo okukuŋŋana okutukuvu gye muli: temukolanga mulimu gwonna ogw'emikono: lye tteeka eritaliggwaawo mu nnyumba zammwe zonna mu mirembe gyammwe gyonna.