Leviticus 23:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Bwe mukungulanga ensi yammwe by'ebazizza, temukungulanga kutuukira ddala ku lubibiro lwa nnimiro, n'ebigenda bisigalira mu by'okungula temubikuŋŋaanyanga; obirekeranga baavu n'abagwira. Nze Mukama Katonda wammwe.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bwe munaakungulanga emmere mu ttaka lyammwe temugimalirangamu ddala okutuuka ku mbibiro z’ennimiro yammwe, wadde okukuŋŋaanyanga eneebanga ekunkumuse wansi nga mumaze okukungula. Eyo mugirekeranga abaavu ne bannamawanga. Nze Mukama Katonda wammwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bwe munaabanga mukungula ebirime byammwe, temubimalirangamu ddala byonna mu nnimiro zammwe, so temuddangayo kulonderera ebyo ebiba bisigaddemu; munaabirekeranga omwavu ne munnaggwanga: Nze Mukama Katonda wammwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bwe munaakungulanga bye mulimye mu nsi yammwe, temuukungulirenga ddala kumalayo na bya ku nsalosalo za nnimiro zammwe, era temuddenga mabega kulonderera ebyo ebisigalidde. Mubirekeranga abaavu n'abagwira. Nze Mukama Katonda wammwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bwe munaakungulanga ebikungulwa eby'ensi yammwe, tomaliranga ddala kukungula nsonda za nnimiro yo, so tolondanga ebyerebwa eby'ebikungulwa byo: onoobirekeranga omwavu n'omugenyi: nze Mukama Katonda wammwe.