Leviticus 23:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Gamba Abayisirayeli nti: ‘Olunaku olusooka mu mwezi ogwomusanvu lunaabanga lunaku lwammwe lwa kuwummula; mulukuzanga ng'ekijjukizo nga mukola olukuŋŋaana olutukuvu ko n'okufuuwa eŋŋombe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti olunaku olw’olubereberye mu mwezi ogw’omusanvu lunaabanga lwa kuwummula, munaakwatirangako olukuŋŋaana olutukuvu olunaalangirirwanga n’okufuuwa amakondeere ag’omwanguka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Gamba abaana ba Isiraeri nti ku lunaku olwolubereberye olw'omwezi ogw'omusanvu, wanaabangawo okuwummula okw'okwewombeeka, n'okukuŋŋaana okutukuvu okunaalangirirwanga n'okufuuwa amakkondeere.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Gamba Abayisirayeli nti ku lunaku olubereberye olw'omwezi ogw'omusanvu, wanaabangawo okuwummulira ddala okw'ekijjukizo, okulangirirwa nga bafuuwa eŋŋombe, era munaakuŋŋaananga okusinza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Gamba abaana ba Isiraeri nti Mu mwezi ogw'omusanvu, ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi, wanaabangawo okuwummula okw'okwewombeeka gye muli, ekijjukizo eky'okufuuwa amakondeere, okukuŋŋaana okutukuvu.