Leviticus 23:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Olunaku olw'ekkumi olw'omwezi ogwomusanvu, Lunaku lwa Kuddaabiriza; mubeeranga n'olukuŋŋaana olutukuvu; musiibanga era ne muweereza ekitone ekiwongere Omukama n'omuliro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Olunaku olw’ekkumi olw’omwezi guno ogw’omusanvu lwe lunaabanga Olunaku olw’Okutangiririrwa. Munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu, muneefiirizanga ne mwerumya, era munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n’omuliro eri Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Olunaku olw'ekkumi olw'omwezi ogwo ogw'omusanvu, lwe lunaku olw'okutangiririrako; munaabanga n'okukuŋŋaana okutukuvu ne mwebonereza nga musiiba; era munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Olunaku olw'ekkumi olw'omwezi ogw'omusanvu, lwe lunaku olw'okuddaabiririzangako. Ku lunaku olwo, muneebonerezanga, era munaakuŋŋaananga okusinza, ne muwaayo eri Mukama ekitone eky'ebyokulya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi ogwo ogw'omusanvu lwe lunaku olw'okutangiririrako: lunaabanga kukuŋŋaana kutukuvu gye muli, nammwe munaabonerezanga obulamu bwammwe; era munaawangayo ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama.