Leviticus 23:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lunaku olwo lwennyini temukolanga mulimu gwonna, kubanga Lunaku lwa Kuddaabiriza, wanaabangawo okuddaabiriza ku lwammwe mu maaso g'Omukama Katonda wammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olunaku olwo temulukolerangako mulimu na gumu, kubanga lwe Lunaku olw’Okutangiririrwa, lwe munaatangiririrwanga awali Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Temukolanga mulimu gwonna ku lunaku olwo; kubanga lwe lunaku olw'okubatangiririrako mu maaso ga Mukama Katonda wammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temuukolenga mirimu gya mikono ku olwo, kubanga lwe lunaku olw'okuddaabiririzaako ku lwammwe, mu maaso ga Katonda wammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So temukolanga mulimu gwonna ku luaaku olwo: kubanga lwe lunaku olw'okutangiririrako, okubatangirira mu maaso ga Mukama Katonda wammwe.