Leviticus 23:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Mukolanga emirimu ennaku mukaaga, olwomusanvu Sabbaato ey'okuwummula n'olukuŋŋaana olutukuvu. Temukolanga mulimu gwonna yonna gye mubeeranga, Sabbaato lwa Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mu nnaku omukaaga munaakolerangamu emirimu gyammwe, naye olunaku olw’omusanvu ye Ssabbiiti ey’okuwummula; lunaabeeranga olunaku olw’okukuŋŋaana okutukuvu. Temulukolerangako mulimu n’akatono yonna gye munaabeeranga, kubanga ye Ssabbiiti ya Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ennaku omukaaga zinaakolerwangako emirimu; naye olunaku olw'omusanvu ye Ssabbiiti ey'okuwummula n'okukuŋŋaana okutukuvu; temulukolerangako mulimu gwonna. Olwo ye Ssabbiiti ya Mukama mu nnyumba zammwe zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ennaku ziri mukaaga ezinaakolerwangako emirimu, naye olunaku olw'omusanvu, ye Sabbaato, lunaku lwa kuwummula. Ku olwo temuukolenga mirimu, naye munaakuŋŋaananga okusinza. Olwa Sabbaato, lunaku lwa Mukama yonna yonna gye mubeera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ennaku omukaaga zinaakolerwangako omulimu: naye ku lunaku olw'omusanvu ye ssabbiiti ey'okuwummula ey'okwewombekerako, okukuŋŋaana okutukuvu; temukolanga mulimu gwonna: olwo ssabbiiti eri Mukama mu nnyumba zammwe zonna.