Leviticus 23:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Luno olunaku Sabbaato ya kuwummula gye muli, musiibanga. Okutandika n'akawungeezi k'olunaku olwomwenda olw'omwezi, okutuusa akawungeezi akaddirira, mukuzanga Sabbaato yammwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lunaabeeranga lwa Ssabbiiti na kuwummulirako gye muli, era muneefiirizanga. Munaakuumanga Ssabbiiti yammwe okuva ku lunaku olw’omwenda olw’omwezi akawungeezi okutuusa ku kawungeezi akaddirira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Lunaabanga gye muli Ssabbiiti ey'okuwummula, ey'okwewombeekerako, nammwe muneebonerezanga nga musiiba, okuva akawungeezi ku lunaku olw'omwenda okutuusa akawungeezi ku lunaku oluddirira, munaakuumanga Ssabbiiti yammwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okuva akawungeezi k'olunaku olw'omwenda olw'omwezi, okutuuka akawungeezi k'olunaku olw'ekkumi, munaakuumanga olunaku luno lube lwa Sabbaato ey'okuwummulira ddala, era muneebonerezanga.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Lunaabanga gye muli ssabbiiti ey'okuwummula ey'okwewombeekerako, nammwe munaabonerezanga obulamu bwammwe: ku lunaku olw'omwenda olw'omwezi akawungeezi, okusooka akawungeezi okutuusa akawungeezi, muneekuumanga ssabbiiti yammwe.