Leviticus 23:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Gamba Abayisirayeli nti: ‘Ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogwomusanvu embaga y'Omukama ey'Ensiisira lw'etandika; ya kumalanga ennaku musanvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano Embaga ya Mukama ey’Ensiisira kw’eneetandikiranga, era eneemalanga ennaku musanvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Gamba abaana ba Isiraeri nti ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi guno ogw'omusanvu wanaabangawo embaga ey'ensiisira eri Mukama okumala ennaku musanvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Gamba Abayisirayeli nti olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogwo ogw'omusanvu, wanaabangawo Embaga ekolerwa Mukama ey'Ensiisira, okumala ennaku musanvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Gamba abaana ba Isiraeri nti Ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi guno ogw'omusanvu wanaabangawo embaga ey'ensiisira okumala ennaku musanvu eri Mukama.