Leviticus 23:36 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okumala ennaku musanvu munaawerezanga ebitone ebiwongere Omukama n'omuliro. Ku lunaku olwomunaana mubeeranga n'olukuŋŋaana olw'ekitiibwa, era ne muweereza ebitone ebiwongere Omukama n'omuliro; lwe lukuŋŋaana olufundikira. Temukolanga mulimu gwonna muzito.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Munaaleetanga ebiweebwayo eri Mukama ebyokye mu muliro okumalira ddala ennaku musanvu, ne ku lunaku olw’omunaana munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu ne muwaayo eri Mukama Katonda ekiweebwayo ekyokye n’omuliro. Olwo lwe lukuŋŋaana olukulu oluggalawo, temulukolerangako mirimu egya bulijjo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku buli lumu ku nnaku ezo omusanvu, munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama; ne ku lunaku olw'omunaana wanaabangawo okukuŋŋaana okutukuvu gye muli; era ne ku olwo munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama. Kwe kukuŋŋaana okukulu; temulukolerangako mulimu gwonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli lunaku, mu nnaku ezo omusanvu, munaawangayo ekitone ekyokebwa. Ku lunaku olw'omunaana, munaakuŋŋaananga okusinza, ne muwaayo ekitone ekyokebwa. Lunaabanga lunaku lukulu lwa kusinzizaako, era temuukolenga mirimu gya mikono.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Munaaweerangayo ennaku musanvu ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama: ku lunaku olw'omunaana wanaabangawo okukuŋŋaana okutukuvu gye muli; nammwe munaawangayo ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama: kwe kukuŋŋaana okukulu; temukolanga mulimu gwonna ogw'emikono.