Leviticus 23:37 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Ezo ze mbaga enkulu ez'Omukama eziragiddwa lwe muyitanga olukuŋŋaana olw'ekitiibwa, era muweerezanga ebitone ebiwongere Omukama n'omuliro: ekitambiro ekyokye, ebitone eby'obuwunga, ebitambiro n'ebitone eby'okuyiwa okusinziira ku lunaku n'ekitone kyalwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ezo ze mbaga Mukama ze yalagira, ze munaalangiriranga nti mbaga ntukuvu okunaaleeterwanga ebiweebwayo eri Mukama Katonda ebyokeddwa mu muliro, ebiweebwayo ebyokye, ebiweebwayo eby’empeke, ssaddaaka n’ebiweebwayo ebinywebwa ebineetaagibwanga buli lunaku.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ezo ze nnaku enkulu ez'embaga eza Mukama z'abalagidde. Munaalangiriranga okukuŋŋaana okutukuvu ne muwaayo ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama, n'ekiweebwayo eky'obutta, ssaddaaka, n'ebiweebwayo eby'okunywa, buli kimu ku lunaku lwakyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ezo ze nnaku enkulu, Mukama z'abalagidde, ze munaalangiriranga okukuŋŋaana okusinza, n'okuwaayo eri Mukama ebitone eby'ebyokulya, n'ebiweebwayo ebyokebwa, n'ebitone eby'emmere ey'empeke, n'ebitambiro, n'ebitone eby'ebyokunywa, buli bimu ku nnaku zaabyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ezo ze mbaga endagire eza Mukama, ze munaalangiranga okuba okukuŋŋaana okutukuvu okuwangayo ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama, ekiweebwayo ekyokebwa, n'ekiweebwayo eky'obutta, ssaddaaka, n'ebiweebwayo eby'okunywa, kinnakimu ku lunaku lwakyo: