Leviticus 23:38 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zino ennaku zongereza ku lwa Sabbaato y'Omukama, ne ku bitambiro byammwe, ne ku bweyamo bwammwe ne ku bitone ebyeyagalire bye muweereza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebiweebwayo bino byeyongera ku biri eby’oku Ssabbiiti za Mukama Katonda, era ne byeyongera ku birabo byammwe ne ku ebyo byonna bye munaabanga mweyamye, ne ku biweebwayo ebirala byonna bye munaabanga muleetedde Mukama Katonda nga mweyagalidde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Embaga ezo zeyongedde ku Ssabbiiti za Mukama eza bulijjo, era n'ebiweebwayo ebyo byeyongedde ku bya bulijjo bye muwaayo eri Mukama okutuukiriza obweyamo, n'ebyo bye muwaayo nga mweyagalidde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Embaga ezo ze zeeyongedde ku Sabbaato za Mukama eza bulijjo. Era ebitone ebyo, bye byeyongedde ku bya bulijjo, bye muwaayo eri Mukama okutuukiriza obweyamo, n'ebitone bye muwaayo nga mweyagalidde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
obutassaako ssabbiiti za Mukama, n'ebirabo byammwe, n'obweyamo bwammwe bwonna, n'ebyo byonna bye muwaayo ku bwammwe, bye muwa Mukama.