Leviticus 23:39 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Awo nno ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogwomusanvu nga mumaze okukungula ebibala byonna mu nsi, mumalanga ennaku musanvu nga mukuza embaga y'Omukama enkulu. Olunaku olusooka lwa kuwummula, n'olwomunaana lwa kuwummula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kale nno okutandikira ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano olw’omwezi ogw’omusanvu, nga mumaze okukungula n’okuyingiza ebibala ebivudde mu ttaka lyammwe, munaakoleranga Mukama Katonda ekijaguzo okumala ennaku musanvu; olunaku olw’olubereberye lunaabanga lwa kuwummula era n’olunaku olw’omunaana nalwo nga lwa kuwummula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogw'omusanvu, bwe munaamalanga okukungula ebibala by'ennimiro zammwe, munaakuumanga embaga ya Mukama okumala ennaku musanvu. Ku lunnaku olwolubereberye ne ku lunaku olw'omunaana wanaabangawo okukuŋŋaana okw'okwewombeeka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bwe munaamalanga okukungula ebibala by'ennimiro zammwe, munaakuzanga embaga eno, okumala ennaku musanvu, nga mutandika n'olunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogw'omusanvu. Ku lunaku olusooka, wanaabangawo okuwummulira ddala, okwenjawulo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogw'omusanvu, bwe munaamalanga ok'ukungula ebibala by'ensi, muneekuumiranga embaga ya Mukama ennaku musanvu: ku lunaku olw'olubereberye wanaabangawo okuwummula okw'okwewombeeka, ne ku lunaku olw'omunaana wanaabangawo okuwummula okw'okwewombeeka.