Leviticus 23:41 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli mwaka embaga eno mugikuzanga ku lw'Omukama okumala ennaku musanvu. Lino tteeka lya lubeerera mu mazadde gammwe gonna. Embaga mugikuzanga mu mwezi ogwomusanvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukolanga bwe mutyo ng’ekyo kye kijaguzo eri Mukama Katonda, okumala ennaku musanvu buli mwaka. Lino ly’etteeka ery’enkalakkalira erinaakwatibwanga n’ab’omu mirembe egigenda okujja; mujaguzenga mu mwezi ogw’omusanvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli mwaka, mu mwezi ogw'omusanvu munaakuumanga embaga ya Mukama eno, okumala ennaku musanvu. Lino lye tteeka eritaliggwaawo mu mirembe gyammwe gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Munaakuzanga embaga eyo okumala ennaku musanvu buli mwaka. Etteeka lino munaalikuumanga ennaku zonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era munaagyekuumiranga okuba embaga eri Mukama ennaku musanvu buli mwaka: lye tteka eritaliggwaawo mu mirembe gyammwe: munaagyekuumiranga mu mwezi ogw'omusanvu.