Leviticus 23:43 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
bazzukulu bammwe balyoke bamanye nti Abayisirayeli nabasuza mu nsiisira bwe nali mbaggya mu nsi y'e Misiri. Nze Mukama Katonda wammwe.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
bwe batyo ab’omu zzadde lyammwe balyoke bamanye nga bwe nasuzanga abaana ba Isirayiri mu busiisira bwe nnali nga mbaggya mu nsi y’e Misiri. Nze Mukama Katonda wammwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
bazzukulu bammwe bonna balyoke bamanye nti bajjajjaabwe bwe baali bava mu nsi ey'e Misiri, nnababeezanga mu nsiisira: Nze Mukama Katonda wammwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ab'ezzadde lyammwe balyoke bamanye nga nabeeza Abayisirayeli mu nsiisira, bwe nabaggya mu nsi y'e Misiri. Nze Mukama Katonda wammwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
emirembe gyammwe giryoke gimanyenga nga natuuza abaana ba Isiraeri mu nsiisira, bwe nnabaggya mu nsi y'e Misiri: nze Mukama Katonda wammwe.