Leviticus 23:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wabula muweerezanga ekitone ekiwongere Omukama n'omuliro okumala ennaku musanvu. Ku lwomusanvu mukolanga olukuŋŋaana olutukuvu; temukolerangako mulimu gwonna muzito.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Munaamalanga ennaku musanvu nga buli lunaku muleeta ekiweebwayo ekyokebwa n’omuliro eri Mukama. Ku lunaku olw’omusanvu munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu, era temuukolerengako mirimu gyammwe egya bulijjo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ennaku musanvu munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama. Ku lunaku olw'omusanvu wanaabangawo okukuŋŋaana okutukuvu. Temulukolerangako mulimu gwonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ennaku ezo omusanvu munaawangayo eri Mukama ekitone ekyokebwa. Ku lunaku olw'omusanvu, munaakuŋŋaananga okusinza. Temuukolenga mirimu gya mikono.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye munaaweerangayo ennaku musanvu ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama: ku lunaku olw'omusanvu wanaabangawo okukuŋŋaana okutukuvu; te mukolanga mulimu gwa mikono.