Leviticus 24:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bamussa mu kkomera, okutuusa lwe banaamanya Omukama ky'ayagala kikolebwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bamuggalira mu kkomera okutuusa Mukama Katonda lw’anaabategeeza ekinaakolebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bamusiba nga balinda Mukama okubategeeza eky'okumukolera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bamukuuma nga balinda Mukama abategeeze eky'okumukolera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bamusiba belyoke babuulirwe mu kamwa ka Mukama.