Leviticus 24:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Oyo eyavumye Katonda mumufulumye ebweru w'olusiisira, bonna abaamuwulira basse emikono ku mutwe gwe, ekibiina kyonna kimukube amayinja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Eyavvodde mumufulumye ebweru w’olusiisira. Abo bonna abaamuwulidde ng’avvoola bateeke emikono gyabwe ku mutwe gwe; oluvannyuma ekibiina kyonna kiryoke kimukube amayinja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Oyo akolimye, mumufulumye ebweru w'olusiisira; n'abo bonna abamuwulidde bateeke emikono gyabwe ku mutwe gwe, ekibiina kyonna kimukube amayinja.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Oyo akolimye, mumutwale ebweru w'olusiisira. N'abo bonna abaamuwulidde, bateeke emikono gyabwe ku mutwe gwe, okukakasa nti yakolimye, ekibiina kyonna kimukube amayinja afe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oyo akolimye mumufulumye ebweru w'olusiisira; n'abo bonna abamuwulidde bateeke emikono gyabwe ku mutwe gwe, ekibiina kyonna kimukube amayinja.