Leviticus 24:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Oli bw'attanga ensolo ya munne, azzangawo endala; anti obulamu olw'obulamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu yenna anattanga ensolo ya munne anaagimuliyiranga, ensolo ku nsolo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'oyo anaakubanga ensolo n'agitta anaagiriwanga; obulamu olw'obulamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'oyo anattanga ensolo eteri yiye, anaagiriwangamu endala. Obulamu busasulwa bulamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'oyo anaakubanga ensolo n'agitta anaagiriwanga: obulamu olw'obulamu.