Leviticus 24:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okumenya olw'okumenya, eriiso olw'eriiso, erinnyo olw'erinnyo; oli nga bw'alumizza munne, naye bwe bamulumyanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
obuvune olw’obuvune, eriiso olw’eriiso, erinnyo olw’erinnyo; nga bw’anaabanga alumizza munne, naye bw’atyo bw’anaalumizibwanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ekinuubule olw'ekinuubule, eriiso olw'eriiso, erinnyo olw'erinnyo; nga bw'alemazizza omuntu, bw'anaasasulibwanga bw'atyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amenya munne eggumba, n'erirye linaamenyebwanga. Eriiso linaasasulwanga liiso, n'erinnyo linaasasulwanga linnyo. Ebisago omuntu by'anaatuusanga ku mulala, naye bye binaamutuusibwangako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ekinuubule olw'ekinuubule, eriiso olw'eriiso, erinnyo olw'erinnyo: nga bw'alemazizza omuntu, bw'anaasasulibwanga bw'atyo.