Leviticus 24:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'ayogera eri Abayisirayeli; eyali avumye Katonda ne bamufulumya mu lusiisira, ne bamukuba amayinja. Abayisirayeli ne bakola ng'Omukama bwe yali alagidde Musa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo Musa n’ategeeza abaana ba Isirayiri, ne bafulumya eyavvoola ebweru w’olusiisira ne bamukuba amayinja n’afa. Abaana ba Isirayiri baakola nga Mukama bwe yalagira Musa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Musa n'agamba abaana ba Isiraeri, oyo eyakolima ne bamufulumya ebweru w'olusiisira, ne bamukuba amayinja. Abaana ba Isiraeri ne bakola nga Mukama bwe yalagira Musa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abayisirayeli, Musa bwe yamala okubategeeza ebyo, oyo eyakolima ne bamutwala ebweru w'olusiisira, ne bamukuba amayinja n'afa. Bwe batyo Abayisirayeli ne bakola nga Mukama bwe yagamba Musa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Musa n'agamba abaana ba Isiraeri, oyo eyakolima ne bamufulumya ebweru w'olusiisira; ne bamukuba amayinja. Abaana ba Isiraeri ne bakola nga Mukama bwe yalagira Musa.