Leviticus 24:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebweru w'olutimbe lw'Endagaano mu Weema ey'Ensisinkano Aroni anaalabiriranga ettawaaza okuva akawungeezi okutuusa ku makya mu maaso g'Omukama obutasalako. Lino tteeka lya lubeerera mu mazadde gammwe gonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wabweru w’Eggigi ery’Endagaano mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, Alooni w’anaalabiririranga ettabaaza ezo nga zaakira awali Mukama Katonda okuva akawungeezi okutuusa mu makya awatali kusalako. Eryo linaabanga tteeka ery’enkalakkalira ne mu mirembe egigenda okujja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli kawungeezi, Alooni anaagirongoserezanga wabweru w'olutimbe oluli mu maaso g'essanduuko ey'Endagaano, mu Weema ey'okusisinkanirangamu, n'agikoleeza n'eyaka obutazikira okutuusa enkeera ng'eri mu maaso ga Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli kawungeezi, Arooni anaagikoleezanga, n'agireka n'eyaka obutazikira, okutuusa enkeera ku makya, awo mu maaso ga Mukama, ebweru w'olutimbe oluli mu maaso g'Essanduuko ey'Endagaano, mu Kifo Ekitukuvu ennyo. Etteeka lino linaakuumibwanga ennaku zonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebweru w'eggigi ery'obujulirwa, mu weema ey'okusisinkanirangamu, Alooni w'anaagirongooserezanga okusooka akawungeezi okutuusa enkya mu maaso ga Mukama olutata: linaabanga tteeka eritaliggwaawo mu mirembe gyammwe gyonna.