Leviticus 24:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ogiteekanga ku mmeeza eya zaabu eri mu maaso g'Omukama mu nnyiriri bbiri, eruuyi mukaaga n'eruuyi mukaaga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Onoogitegekanga mu nnyiriri bbiri nga mu buli lunyiriri mulimu emigaati mukaaga. Onoogiteekanga ku mmeeza eya zaabu omuka awali Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era onoogitegekanga ku mmeeza eya zaabu ennongoose, mu maaso ga Mukama mu mbu bbiri, buli lubu nga lulimu emigaati mukaaga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Munaagiteekanga mu mbu bbiri, ku buli lubu emigaati mukaaga, mu maaso ga Mukama, ku mmeeza ebikkiddwako zaabu omulongoose.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era onoogitegekanga embu bbiri, buli lubu mukaaga, ku mmeeza ennongoofu mu maaso ga Mukama.