Leviticus 24:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli lwa Sabbaato emigaati ginassibwanga mu maaso g'Omukama ku lw'Abayisirayeli ng'endagaano ey'olubeerera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Emigaati egyo ginaategekebwanga awali Mukama buli Ssabbiiti awatali kwosa, ng’ekyo kikolebwa ku lw’abaana ba Isirayiri nga ye ndagaano ey’emirembe n’emirembe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli Ssabbiiti anaagitegekanga mu maaso ga Mukama olutata; ye ndagaano eteriggwaawo ku lw'abaana ba Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli Sabbaato obutayosa, Arooni anaateekanga emigaati egyo mu maaso ga Mukama ku lw'Abayisirayeli, nga ye ndagaano ey'olubeerera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Buli ssabbiiti anaagitegekanga mu maaso ga Mukama olutata; ye ndagaano eteriggwaawo ku lw'abaana ba Isiraeri.