Leviticus 24:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Giribanga gya Aroni ne batabani be; bagiriiranga mu kifo ekitukuvu kubanga gwe mugabo gwabwe omutukuvu ennyo ogw'olubeerera oguvudde ku bitone ebiwongere Omukama n'omuliro.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Emigaati egyo ginaabanga gya Alooni ne batabani be, era banaagiriiranga mu kifo ekitukuvu, kubanga giva ku kiweebwayo ekitukuvu ennyo eri Mukama Katonda nga kyokeddwa mu muliro nga kye kiragiro eky’enkalakkalira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ginaabanga gya Alooni ne batabani be; era banaagiriiranga mu kifo ekitukuvu; kubanga mitukuvu nnyo gyali, ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro olw'etteeka eritaliggwaawo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emigaati egyo ginaabanga gya Arooni ne batabani be, era banaagiriiranga mu Kifo Ekitukuvu, kubanga ekyo kye kitundu ekitukuvu ennyo eky'ebyokulya ebitonebwa eri Mukama.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ginaabanga gya Alooni ne batabani be; era banaagiriiranga mu kifo ekitukuvu: kubanga mitukuvu nnyo gyali ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro olw'etteeka eritaliggwaawo.