Leviticus 25:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mutukuzanga omwaka ogw'amakumi ataano; mulangiriranga okuteebwa eri buli mutuuze waayo, guliba Mwaka gwa Kijaguzo gye muli. Muddanga buli omu ku butaka, era buli omu addangayo mu b'ekika kye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Munaatukuzanga omwaka ogw’amakumi ataano, era munaalangiriranga ebiseera eby’eddembe eri abatuuze bonna mu ggwanga lyammwe. Omwaka ogwo gunaabanga gwa kujaguza gwa Jjubiri gye muli; buli omu anaddangayo mu kifo kye eky’obwannannyini, era buli omu anaddangayo mu kika kye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era munaatukuzanga omwaka ogw'ataano (50), ne mulangira eddembe mu nsi yonna eri abo bonna abagituulamu: gunaabanga jjubiri gye muli; era munaakomangawo buli muntu mu butaka bwe, era munaakomangawo buli muntu mu nda ze.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe mutyo munaatukuzanga omwaka ogw'amakumi ataano, ne mulangirira eddembe eri abatuuze b'omu nsi yammwe. Mu mwaka ogwo, buli omu anaddizibwanga obutaka bwe, era buli omu eyatundibwa mu buddu, anaddangayo mu bantu be.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era munaatukuzanga omwaka ogw'ataano, ne mulangira eddembe mu nsi yonna eri abo bonna abagituulamu: gunaabanga jjubiri gye muli; era munaakomangawo buli muntu mu butaka bwe, era munaakomangawo buli muntu mu nda ze.