Leviticus 25:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omwaka ogw'amakumi ataano gunaabanga Mwaka gwa Kijaguzo ku mmwe; temusiganga, wadde okukungula ebimererezi, n'emizabbibu egitaasalirwa temuginogangako,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omwaka ogw’amakumi ataano gunaabanga gwa kujaguza gwa Jjubiri gye muli; mu mwaka ogwo temuusigenga era temuukungulenga bikuze ku bimererezi newaakubadde okukuŋŋaanya ebibala eby’oku mizabbibu egitali misalire.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omwaka ogwo ogw'ataano (50) gunaabanga jjubiri gye muli: temusiganga, so temukungulanga ekyo ekimera kyokka mu gwo so temunoganga mu gwo ku mizabbibu egitali misalire.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omwaka ogwo munaagumalanga mujaguza. Temuusigenga, era temuukungulenga ebyo ebyemeza byokka. Era mu mwaka ogwo temuukuŋŋaanyenga bibala bya mizabbibu egitali misalire.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwaka ogwo ogw'ataano gunaabanga jjubiri gye muli: temusiganga, so temukungulanga ekyo ekimera kyokka mu gwo so temunoganga mu gwo ku mizabbibu egitali misalire.