Leviticus 25:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Mu mwaka ogwo ogw'Ekijaguzo buli omu mu mmwe addangayo ku butaka bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mu mwaka ogwo ogw’okujaguza ogwa Jjubiri buli omu anaddangayo mu kifo kye eky’obwannannyini.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mu mwaka ogwo ogwa jjubiri mwe munaakomerangawo buli muntu mu butaka bwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mwaka ogwo, buli ekyatundibwa kinaddiranga nnyinikyo eyasooka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu mwaka ogwo ogwa jjubiri mwe munaakomerangawo buli muntu mu butaka bwe.