Leviticus 25:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'oguzanga munno ettaka, oba n'olimugulako, temuseeragananga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era bwe munaatunzanga bannammwe ekintu kyonna oba bwe munaagulanga ku bannammwe ekintu kyonna, temuseeragananga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale bwemubanga muguza Baisiraeri bannammwe ettaka, oba nga mulibagulako temulyazaamanyagananga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale bwe mubanga muguza Bayisirayeli bannammwe ettaka, oba nga mulibagulako, temuulyazaamaanyenga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bw'onooguzanga muliraanwa wo ekintu kyonna, oba by'onoogulanga mu mukono gwa muliraanwa wo, temulyazaamaanyagananga: