Leviticus 25:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ogulanga ku munno ettaka okusinziira ku bbanga eryakayitawo okuva ku Mwaka ogw'Ekijaguzo, ate naye anaakuguzanga okusinziira ku myaka egy'okukungula egibulayo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Munnansi munno onoomugulangako ng’osinziira ku myaka egyakayitawo okuva ku kujaguza ku Jjubiri. Era naye anaakutunzanga ng’asinziira ku myaka egibulayo okutuuka ku makungula g’ebibala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuwendo gunaagerekebwanga okusinziira ku myaka eginaabanga gisigaddeyo okulirimirako nga terinnaddizibwa nannyini lyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuwendo gunaagerekebwanga, nga mubalira ku myaka, ettaka gye likyayinza okubaza ebibala, ng'omwaka ogw'okuliddiza alitunda tegunnatuuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ng'omuwendo gw'emyaka bwe guli egiddiridde jjubiri, bw'onoogulaananga ne muliraanwa wo, era ng'omuwendo gw'emyaka egy'ebikungulwa bwe guli bw'anaakuguzanga.