Leviticus 25:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emyaka egisigaddeyo bwe giba emingi n'omuwendo guliba waggulu, bwe giriba emitono nagwo guliba wansi, kubanga ddala ky'akuguza gye mirundi gy'amakungula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Emyaka bwe ginaabanga emingi, omuwendo ogulamulwa munaagwongezanga, naye emyaka bwe ginaabanga emitono munaagukendeezanga, kubanga obungi bw’ebikungulwa, bw’ogula ku mutunzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Emyaka egikyabulayo bwe ginaabanga emingi, omuwendo gunaabanga munene. Emyaka egikyabulayo bwe ginaabanga emitono, n'omuwendo gunaabanga mutono, kubanga omuwendo gunaasinziiranga ku makungula agasigaddeyo ng'ettaka terinnaddizibwa nnannyini lyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emyaka egikyabulayo bwe ginaabanga emingi, omuwendo gunaabanga munene. Emyaka egikyabulayo bwe ginaabanga emitono, n'omuwendo gunaabanga mutono, kubanga omuwendo gw'ebikungulwa gwe gutundibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ng'emyaka bwe ginenkananga obungi bw'onooyongera bw'otyo ku muwendo gwakyo, era ng'emyaka bwe ginenkananga obutono bw'onoosalanga bw'otyo ku muwendo gwakyo; kubanga omuwendo gw'ebikungulwa gw'akuguza.