Leviticus 25:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Gamba Abayisirayeli nti: ‘Bwe muyingiranga ensi gye ndibawa, ettaka liwummulanga ssabbatto ku lw'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti bwe mutuukanga mu nsi gye mbawa, ensi yennyini eneekuumiranga Mukama Katonda ssabbiiti.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Yogera n'abaana ba Isiraeri obagambe nti, Bwe muliyingira mu nsi gye mbawa, mulissaamu Mukama ekitiibwa nga temulima nsi eyo buli mwaka ogw'omusanvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ategeeze Abayisirayeli nti: “Bwe muliyingira mu nsi gye mbawa, mulissaamu Mukama ekitiibwa nga muleka okulima ensi eyo buli mwaka ogw'omusanvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti Bwe muliyingira mu nsi gye mbawa, ensi n'eryokanga yeekuuma ssabbiiti eri Mukama.