Leviticus 25:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mulituuka okusiga mu mwaka ogwomunaana nga mukyalya ku bye mwabaza ebikadde, mulibirya okutuusa amakungula g'omu mwaka ogwomwenda bwe galituuka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe munaabanga musiga mu mwaka ogw’omunaana, munaabanga mulya ku bibala ebikadde bye mwatereka, okutuusa nga mukungudde ebibala eby’omwaka ogw’omwenda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe munaasiganga mu mwaka ogw'omunaana, munaabanga mukyalya ku bye mwakungula edda, era munaabanga mukyalina emmere ebamala okutuusa amakungula ag'omwaka ogw'omwenda lwe gunaatuukanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe munaasiganga mu mwaka ogw'omunaana, munaabanga mukyalya ku bye mwakungula edda, era munaabanga mukyalina emmere ebamala okutuusa amakungula ag'omwaka ogw'omwenda lwe gunaatuukanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era munaasiganga mu mwaka gw'omunaana, ne mulya ku bibala ebyaterekebwa edda; okutuusa ku mwaka ogw'omwenda, ebibala byayo lwe birituuka, munaalyanga ku byaterekebwa edda.