Leviticus 25:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Ettaka si lya kutunda kagenderere, kubanga lyange, nammwe muli bagwira, basenze busenze gye ndi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ettaka teriitundibwenga kagenderere, kubanga ensi yange; mwe muli bayise era abasuze obusuze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ettaka teritundibwanga okulyeggyirako ddala olubeerera kubanga lyange, kubanga mmwe muli bagenyi era abayise be nnasenza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ettaka teriitundibwenga okuliviiramu ddala olubeerera, kubanga lyange. Mwe muli bagwira era bayise, be nsenza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So ensi tetundibwanga okugiviiramu ddala ennaku zonna; kubanga ensi yange: kubanga muli bagenyi era abayise gye ndi.