Leviticus 25:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno obutaka bwammwe, bwe mubutundanga mubeeranga n'engeri ey'okubununula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli kitundu kya nsi kye munaalyanga, bwe mutundanga ettaka mwerekerangawo omwagaanya ogw’okulinunulayo gye mulitunze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe munaatundanga ettaka ery'obutaka bwammwe, munakkirizanga nannyiniryo eyasooka okulinunula.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu nsi yammwe yonna gye mulimu, ettaka bwe litundibwa, munakkirizanga nnyiniryo eyasooka okulinunula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne mu nsi yonna ey'obutaka bwammwe munakkirizanga ensi okununulibwa.