Leviticus 25:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
abaliriranga emyaka okuva lwe kyatundibwa okufuna omuwendo ogukigyamu; ezifikkangawo z'addizanga gwe yakiguza. Olwo anaayinzanga okudda mu butaka bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
anaabaliriranga omuwendo gw’ensimbi oguli mu myaka kasookedde abitunda, n’abala n’omuwendo ogugya mu myaka egisigaddeyo okutuuka ku Jjubiri, n’agusasula omuntu gwe yaguza ebintu ebyo, olwo eyatunda aneddirangayo mu bintu bye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
anaabalanga emyaka gy'amaze ng'alitunze, n'asasula eyaligula ekyo ekigya mu myaka egikyasigaddeyo okutuuka ku mwaka ogwa jjubiri, n'alyoka alyeddiza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
anaabalanga emyaka gy'amaze ng'alitunze, n'asasula eyaligula ekyo ekigya mu myaka egikyasigaddeyo okutuuka ku mwaka ogw'okujaguza, n'alyoka alyeddiza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo abalenga emyaka gye kyatundirwamu n'addiza ebisukkiriddemu amuntu gwe yakiguza; naye anaddanga mu butaka bwe.