Leviticus 25:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bw'alemererwanga okufuna engeri y'okumusasula, kye yatunda kinaasigalanga n'eyakigula okutuusa ku Mwaka ogw'Ekijaguzo. Eyakigula ateekwa okukiddizanga nnyinikyo mu Mwaka ogw'Ekijaguzo, olwo eyabanga nakyo mu kusooka ayinza okudda mu butaka bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye singa alemwa okufuna obusobozi okumusasula, kale ebyo bye yatunda binaasigalanga mu mukono gw’eyabigula nga ye nannyini byo okutuusa mu Mwaka gwa Jjubiri. Binamuddizibwanga mu Jjubiri, era anaayinzanga okweddirayo mu bintu bye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'anaabanga tasobola kulyeddiza, linaasigalanga mu mikono gy'oyo eyaligula, okutuusa mu mwaka ogwa jjubiri; olwo ne liryoka liteebwa mu mwaka ogwa jjubiri ne liddira nannyiniryo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'aba nga tasobola kulyeddiza, linaabeeranga mu mikono gy'oyo eyaligula, okutuuka ku mwaka ogw'okujaguza. Linaateebwanga mu kujaguza, n'addamu okuba nnyiniryo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bw'aba nga tayinza kukyeddiza, kale ekyo kye yatunda kinaabeeranga mu mukono gw'oyo eyakigula okutuusa ku mwaka gwa jjubiri: awo kinaagenderanga mu jjubiri, naye anaddanga mu butaka bwe.