Leviticus 25:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Oli bw'atundanga ennyumba ye eri mu kibuga ekiriko bbugwe, anaayinzanga okuginunula mu bbanga ery'omwaka ogumu oluvannyuma lw'okugitunda. Mu bbanga eryo ayinza okuginunula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omuntu bw’anaatundanga ennyumba esulwamu eri mu kibuga ekyetooloddwa bbugwe, anaayinzanga okuginunula mu mwaka nga tegunaggwaako. Mu bbanga eryo ery’omwaka omulamba mw’anaabeereranga n’obuyinza obw’okuginunula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era omuntu bw'anaatundanga ennyumba ye gy'abeeramu ng'eri mu kibuga ekiriko bbugwe, anaayinzanga okuginunula ng'omwaka omulamba tegunnaggwaako kasookedde etundibwa; anaamalanga omwaka omulamba ng'alina obuyinza obw'okuginunula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omuntu bw'anaatundanga ennyumba ye eri mu kibuga ekiriko ekigo, anaayinzanga okuginunula mu bbanga ery'omwaka omulamba okuva lwe yagitunda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omuntu bw'atundanga ennyumba ey'okutuulamu mu kibuga ekiriko bbugwe, kale anaayinzanga okuginunula omwaka omulamba nga tegunnaggwaako kasookedde etundibwa; anaamalanga omwaka omulamba ng'alina obuyinza obw'okununula.
Recommended Reading