Leviticus 25:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Onoosiganga mu nnimiro yo okumala emyaka mukaaga; emyaka mukaaga onoosaliranga emizabbibu gyo n'onoga ebibala byakwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okumala emyaka mukaaga ennimiro zammwe munaazisigangamu emmere, era mu myaka egyo omukaaga munaasaliranga emizabbibu gyammwe n’ebibala ne mubikungula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ennimiro yo onoogisigiranga emyaka mukaaga, n'olusuku lwo olw'emizabbibu onoolusaliranga emyaka mukaaga, era n'okungula ebibala byalwo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Munaasiganga ennimiro zammwe, ne musaliranga ennimiro zammwe ez'emizabbibu, era ne mukungulanga ebibala byazo okumala emyaka mukaaga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ennimiro yo onoogisigiranga emyaka mukaaga, n'olusuku lwo olw'emizabbibu onoolusaliriranga emyaka mukaaga, n'okungula ebibala byalwo;