Leviticus 25:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omwaka bwe guyitanga nga taginunudde, ennyumba eri mu kibuga ekiriko bbugwe eneefuukanga y'oyo eyagigula ne bazzukulu be ennaku zonna; si ya kununula newandibadde mu Mwaka ogw'Ekijaguzo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ennyumba eyo eri mu kibuga ekyetooloddwa bbugwe bw’eteenunulibwenga mu bbanga ery’omwaka ogumu, kale eneebeereranga ddala y’oyo eyagigula n’ezzadde lye. Eyagitunda teemuddizibwenga mu Jjubiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bw'eteenunulibwenga mu bbanga ery'omwaka omulamba, kale ennyumba eyo eri mu kibuga ekiriko bbugwe, eneefuukiranga ddala y'oyo eyagigula ennaku zonna, teddizibwanga nnannyiniyo mu mwaka ogwa jjubiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka bw'ataaginunulenga mu bbanga eryo ery'omwaka omulamba, eneefuukiranga ddala y'oyo eyagigula, n'eba yiye n'abasika be ennaku zonna. Tezzibwengayo mu mwaka ogw'okujaguza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bw'eteenunulirwenga mu bbanga ery'omwaka omulamba, kale ennyumba eri mu kibuga ekiriko bbugwe eneefuukiranga ddala y'oyo eyagigula okuba eyiye ennaku zonna, mu mirembe gye gyonna: tegenderanga mu jjubiri.