Leviticus 25:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ennyumba mu bibuga okutali bbugwe abyetoolodde, za kuyisanga ng'ebyalo; ziriyinzanga okununulibwa, era mu Mwaka ogw'Ekijaguzo za kuzzibwangayo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye amayumba ag’omu bubuga obutono obw’omu byalo obuteetooloddwako bisenge, ganaabalirwanga mu ttuluba lye limu n’ery’ennimiro eziri mu byalo. Ganaanunulibwanga era ne gaddira bannyinigo mu Jjubiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ennyumba ez'omu byalo ebitaliiko bbugwe okubyetooloola zinaabalibwanga bumu n'ennimiro ez'omu byalo; zinaayinzanga okununulibwa, ne ziddira bannannyinizo mu mwaka ogwa jjubiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye amayumba ag'omu byalo ebitaliiko kigo, ganaabalirwanga bumu ng'ennimiro: ganaayinzanga okununulibwa, era ganazzibwangayo mu mwaka ogw'okujaguza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ennyumba ez'omu byalo ebitaliiko bbugwe okubyetooloola zinaabalirwanga wamu n'ennimiro ez'omu byalo: zinaayinzikanga okununulibwa, era zinaagenderanga mu jjubiri.