Leviticus 25:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Abaleevi bayinza okununula ennyumba zaabwe eziri mu bibuga byabwe eby'obutaka ebbanga lyonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bulijjo Abaleevi banaabanga ba ddembe okununula amayumba gaabwe agali mu bibuga byabwe eby’Abaleevi bye balinako obwannannyini.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ennyumba ez'Abaleevi eziri mu bibuga eby'obutaka bwabwe, banaayinzanga okuzinunula ebbanga lyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wabula Abaleevi, ennyumba zaabwe ezaazimbibwa mu bibuga byabwe ebyabaweebwa, banaayinzanga okuzinunula ebbanga lyonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ebibuga eby'Abaleevi, ennyumba ez'omu bibuga eby'obutaka bwabwe, Abaleevi banaayinzanga okuzinunula mu biro byonna.