Leviticus 25:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eby'Abaleevi byo biyinza okununulibwa, kwe kugamba, ennyumba ezaagulwa mu kibuga eky'obutaka, mu mwaka gw'Ekijaguzo biddiranga bannyinibyo, kubanga ennyumba z'omu bibuga by'Abaleevi butaka bwabwe mu Bayisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era Omuleevi bw’anaabanga takozesezza ddembe lye ery’okununula, kale ennyumba eyatundirwa mu kibuga Abaleevi kye balinako obwannannyini, eneemuddiranga mu Jjubiri; kubanga mu bantu ba Isirayiri ennyumba eziri mu bibuga by’Abaleevi za Baleevi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuleevi bw'anaatundanga ennyumba ye eri mu bibuga ebyo, eneemuddizibwanga mu mwaka ogwa jjubiri, kubanga amayumba Abaleevi ge balina mu bibuga byabwe, bwe butaka bwabwe ennaku zonna mu Baisiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuleevi bw'anaatundanga ennyumba ye eri mu bibuga ebyo, eneemuddizibwanga mu mwaka ogw'okujaguza, kubanga amayumba Abaleevi ge balina mu bibuga byabwe, gabeerera ddala gaabwe ennaku zonna mu Bayisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omu ku Baleevi bw'anaanunulanga, kale ennyumba eyatundibwa, n'ekibuga eky'obutaka bwe, binaagenderanga mu jjubiri: kubanga ennyumba ez'omu bibuga eby'Abaleevi bwe butaka bwabwe mu baana ba Isiraeri.